Luke 11:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'amugamba nti: “Kale mmwe Abafarisaayo mutukuza ebikopo n'entamu ku ngulu, sso munda mujjudde obunyazi n'obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe n'amugamba nti, “ Mmwe Abafalisaayo munaaza ku ngulu w'ekikompe n'aw'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama waffe n'amugamba nti: “Mmwe Abafarisaayo mwoza kungulu wa bikopo, na kungulu wa bibya. Naye mu mitima gyammwe mujjudde obunyazi n'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe n'amugamba nti Mmwe Abafalisaayo munaaza kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi.