Luke 11:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mugabire abaavu kye mulina munda, byonna bwe bityo lwe biribabeerera ebitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebiri mu ndeku n'ebiri mu bibya mubigabire abaavu, olwo ebintu byonna bijja kubabeerera birongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.