Luke 11:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze mmwe Abafarisaayo! Kubanga muwa ekyekkumi ekya nnabbugira n'eky'akakubansiri, n'ekya buli kiddo, ne mutafa ku bwenkanya na ku kwagala Katonda; sso ebyo mwanditeekeddwa okubikola nga na biri temubirese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye obwenkanya n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mulagajjalira obwenkanya n'okwagala Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye omusango n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo.