Luke 11:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze, mmwe Abafarisaayo! Kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga n'okulamusibwa mu mbuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Mwagala ebifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n'okulamusibwa mu butale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga mwagala entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale.