Luke 11:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Nammwe abayigiriza b'amateeka, zibasanze! Kubanga abantu mubabinika emigugu emizibu okwetikka; sso nga mmwe temugikwata nako wadde n'olugalo lwammwe olumu luti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “ Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Nammwe abannyonnyozi b'amateeka, muli ba kubonaabona! Mulagira abantu okwetikka emigugu egiteetikkika, mmwe mwennyini ne mutagikwatako wadde n'olugalo lwammwe olumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe.