Luke 11:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mujulira era ne mukkiriza ebikolwa bya bajjajjammwe; anti bo baabatta ate mmwe ne mubazimbira amalaalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo muli bajulirwa nti musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo batta bannabbi, nammwe muzimba amalaalo gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo mulaga nti musiima bajjajjammwe bye baakola. Bo batta abalanzi, ate mmwe ne muzimba amalaalo g'abalanzi abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo muli bajulirwa era musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo baabatta, nammwe muzimba amalaalo gaabwe.