Luke 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Ani mu mmwe aliba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi ly'obudde, n'amugamba nti: ‘Munnange, mpolaayo emigaati esatu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abagamba nti: “Singa omu ku mmwe aba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi n'amugamba nti: ‘Munnange, mpola emigaati esatu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu;