Luke 11:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva ku musaayi gwa Abeli okutuuka ku gwa Zakariya eyazikiririra wakati w'omwaliiro n'Ekiggwa. Yee! ka mbabuulire, gulibuuzibwa ezzadde lino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne Yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulivunaanibwa abantu ab'emirembe gino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuva ku musaayi gwa Abeeli, okutuuka ku gwa Zakariya eyattirwa wakati wa alutaari, n'ekifo ekitukuvu mu Ssinzizo. Weewaawo, mbagamba nti gulivunaanibwa abantu b'omulembe guno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino.