Luke 11:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze mmwe abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwakwata ekisumuluzo ky'okumanya, naye mmwe mwennyini temwayingira, ate ne muziyiza n'abandiyingidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muli ba kubonaabona mmwe abannyonnyozi b'amateeka! Mwaggyawo ekisumuluzo ekisumulula oluggi olw'okumanya, mmwe mwennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza abo abaali bayingira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.