Luke 11:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yavaawo n'agenda, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne batandika okumukambuwalira n'okumusimaasima ku bintu bingi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yava mu kifo ekyo, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okumuketta ennyo n'okumukemereza okwogera ku bintu bingi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi;