Luke 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oli n'ayima mu nnyumba n'ayanukula nti: ‘Tontawaanya; neggalidde dda; nze n'abaana bange tuli mu buliri; sisobola kugolokoka kujja kukuwa kantu.’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti, ‘Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyokka oli, ng'ali mu nnyumba, n'addamu nti: ‘Tonteganya, oluggi nalusibye dda, era abaana bange nange tuli mu buliri. Siyinza kugolokoka kukuwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?