Luke 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga eryo ebibiina by'abantu nkumi na nkumi bwe byali bikuŋŋaana, ng'abantu balinnyaganako na bulinnyaganyi, n'atandika okugamba ng'asookera ku bayigirizwa be nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, anti bwe bukuusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo abantu b'ekibiina nkumi n'ankumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyaganako ne balinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti, “ Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi bwe baakuŋŋaana ne batuuka n'okulinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, bwe bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo abantu b'ekibiina obukumi n'obukumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyagana nga balinnyagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubagamba nti Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi.