Luke 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mmwe bwe babatwalanga mu sinaagooga, oba mu maaso g'abafuzi n'ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga nti munaayanukula mutya oba kiki, oba nti kiki kye munaayogera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro, oba mu maaso g'abalamuzi oba ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaayanukula, oba kye munaayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe babaleetanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera;