Luke 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu mu kibiina n'amugamba nti: “Muyigiriza, ŋŋambira ku muganda wange aŋŋabanyize ku by'obusika.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuntu omu ow'omu kibiina n'amugamba nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu mu kibiina ky'abantu, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuntu ow'omu kibiina n'amugamba nti Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby'obusika bwaffe.