Luke 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Musajja wattu, ani yanteekawo okubalamula n'okubasalirawo ensonga zammwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye n'amugamba nti, “Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi w'ebyobusika byammwe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Owange, ani yanteekawo okubalamula oba okubagabanyizaamu ebyammwe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye n'amugamba nti Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi wammwe?