Luke 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'abagamba nti: “Mwekkaanye, era mwekuumenga omululu gw'ebintu; kubanga obulamu bw'omuntu tebuli mu buyitirivu bw'ebintu by'alina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba abaaliwo nti: “Mutunule era mwekuume okululunkanira ebintu, kubanga obulamu bw'omuntu tebuba mu bya kufuna ne bw'aba na bingi bitya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.