Luke 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: ‘Nzija kukola bwe nti: nzija kwabya amawanika gange, nzimbe agasingawo obunene, omwo mwe mba nkuŋŋaanyiza eŋŋano yange n'ebintu byange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: ‘Kiikino kye nnaakola. Nja kumenyawo ennyumba zange mwe ntereka, nzimbe ezisingawo obunene. Omwo mwe nnaatereka ebirime byonna eby'empeke, n'ebintu byange ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange.