Luke 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti: temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, newandibadde omubiri, nti munaayambala ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abayigirizwa be nti, “ Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya, newaakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abayigirizwa be nti Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.