Luke 12:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye binnamuŋŋoona: tebisiga wadde okukungula, tebirina materekero wadde ebyagi; sso Katonda abiriisa. Nga muli ba muwendo okusinga ebinyonyi!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulowooze bannamuŋŋoona, tebasiga so tebakungula; tebalina tterekero, newakubadde eggwanika; naye Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutunuulire nnamuŋŋoona. Tasiga, takungula, era talina kisenge wadde ennyumba mw'atereka, naye Katonda amuwa emmere. Mmwe temusinga nnyo ebinyonyi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulowooze bannamuŋŋoona, bwe batasiga so tebakungula; abatalina tterekero, newakubadde eggwanika; era Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi?