Luke 12:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani mu mmwe ne bwe yeeraliikirira atya, ayinza okwongera omukono ogumu ku buwanvu bwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku bulamu bwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu?