Luke 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye amalanga nga bwe gakula: tegalanga wuzi wadde okuluka; naye, ka mbabuulire, newandibadde Solomoni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutunuulire amalanga. Tegakola mulimu, wadde okuluka engoye, naye mbagamba nti newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go.