Luke 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno bye mwayogeranga mu nzikiza biriwulirwa mu kitangaala; ne kye mwayogeranga mu nkukutu mu kisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna bye mwali mwogedde mu nzikiza, birirangirirwa mu musana, ne kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogeredde mu kutu mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba.