Luke 12:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mufaanane abantu abalindirira mukama waabwe lw'anaava ku mbaga ey'obugole; bw'atuuka n'akonkona ku luggi, bamuggulirewo mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangwago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mube ng'abantu abalindirira mukama waabwe okudda ng'ava ku mbaga ey'obugole, balyoke bamuggulirewo amangwago nga yaakakonkona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangu ago.