Luke 12:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'alituuka mu kisisimuka ekyokubiri oba ekyokusatu, amala abasanga bw'atyo, abaweereza abo baliba ba mukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa ajja ekiro mu luwalo olwokubiri oba olwokusatu olw'okukuuma, n'abasanga bwe batyo, abaddu abo ba mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo.