Luke 12:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanye na kino, nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, teyandiremye kwetegeka n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya essaawa omubbi gy'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.