Luke 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe, mikwano gyange, ka mbabuulire, temutyanga abo abatta omubiri obubiri, bwe bamala ekyo nga tebakyaliko kye bayinza kirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kigambo kisingawo kye bayinza kukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mbagamba mmwe mikwano gyange nti temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kisingawo kye bayinza kukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluyannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo.