Luke 12:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Awo nno ye ani oyo omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'alissa ku bakozi b'omu nnyumba ye okubagereranga ekipimo ky'eŋŋano akadde nga katuuse?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe n'agamba nti, “ Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe n'agamba nti: “Kale ani omuwanika omwesigwa omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe n'agamba nti Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?