Luke 12:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa omuweereza oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde okutuuka,’ n'asooka okukuba abaweereza n'abazaana, okulya, okunywa n'okutamiira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuddu oyo singa agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, era n'atandika okulya n'okunywa, n'okutamiira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atanula okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira;