Luke 12:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi; alimubonereza nnyo n'amubalira mu batakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamulindirira, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abatakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza.