Luke 12:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka omuweereza oyo eyamanya mukama we ky'ayagala n'atabaako ky'ateekateeka, n'atakola nga bwe yalagira, aliweweenyulwa nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, kyokka n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate omuddu eyamanya mukama we ky'ayagala, kyokka n'atategeka oba n'atakola nga mukama we bw'ayagala, alikubibwa emiggo mingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi;