Luke 12:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ataamanya, n'amala akola ebimusaanyiza okukubwa, aliweweenyulwa katono. Kubanga buli eyaweebwa ebingi alibuuzibwa bingi; era oyo eyasingirwa ebingi, balimubuuza na bingi okusingawo. Yezu aleese muliro na njawukana
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula oyo ataamanya, n'akola ekimusaanyiza okukubibwa, alikubwa mitono. Buli eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, balimubuuza ebisingawo ku bye yateresebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.