Luke 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbategeeze gwe mubanga mutya: mutyenga oyo amala okutta, ate n'asobola n'okusuula mu Geyenna; yee, mbagamba, oyo mumutyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ka mbalage gwe muteekwa okutya: mutyenga Katonda alina obuyinza ng'amaze okutta, okusuula mu muliro ogutazikira. Weewaawo mbagamba nti: mumutyenga!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga.