Luke 12:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyawukana: kitaawe w'omwana ne mutabani we, n'omwana ne kitaawe; nnyina w'omwana ne muwala we, n'omuwala ne nnyina; nnyazaala ne mukaamwana we, ne mukaamwana ne nnyazaala we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano balyesalamu: nnyina w'omwana ne muwala we; omuwala ne nnyina; nnyazaala ne muka mwana we; muka mwana ne nnyazaala we.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.