Luke 12:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba ebibiina nti: “Bwe mulaba ekire nga kyambuka okuva ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti: ‘Enkuba ejja,’ era bwe kiba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba ebibiina nti, “ Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate n'agamba n'ebibiina by'abantu nti: “Bwe mulaba ekire nga kiva ebugwanjuba, amangwago mugamba nti: ‘Enkuba eneetonnya.’ Era bwe kityo bwe kiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba ebibiina nabyo nti Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo.