Luke 12:56 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakuusa mmwe! Mumanyi okusoma enfaanana y'ensi n'ey'eggulu, naye lwaki temumanyi kusoma budde buno?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannanfuusi, mmwe mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya n'okukebera obudde buno?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakuusa mmwe! Mumanyi okunnyonnyola amakulu g'endabika y'ensi n'ey'eggulu. Kale lwaki temumanyi makulu ga kiseera kino?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannanfuusi, mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya okukebera obudde buno?