Luke 12:58 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oba oyambuka ew'omwami n'oli gw'owoza naye, gezaako okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme kukutwala wa mulamuzi, omulamuzi aleme kukuwa muserikale, omuserikale akusuule mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukutwala ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'oba ng'ogenda ew'omulamuzi n'omuntu akuwawaabira, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'omuserikale n'akusuula mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukuwalulira ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera.