Luke 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale enkazaluggya ttaano, tezitundibwa ssente bbiri? Sso ku ezo tewali n'emu yeerabirwa mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? Naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Enkazaluggya ttaano tezigula busente mpa we buzira? Naye tewali wadde emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.