Luke 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamunyumiza ku Bagalilaaya omusaayi gwabwe Pilato gwe yatabula n'ebitambiro byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne wabaawo abategeeza Yesu nga Piraato bwe yatta Abagaliraaya, omusaayi gwabwe n’agutabula mu biweebwayo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo, ne baabuulira Yesu eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo abaamubuulira eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe.