Luke 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
waaliwo omukazi eyali alina omwoyo ogw'obuyongobevu okumala emyaka kkumi na munaana; yali abenduse omugongo nga tayinza kwesimba n'akatono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, waaliwo omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka kkumi na munaana (18); ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ekkumi n'omunaana; ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono.