Luke 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu wa sinaagooga n'anyiiga olw'okubanga Yezu amuwonyezza ku Sabbaato; n'agamba ekibiina nti: “Ennaku ezigwanidde okukolerwamu emirimo ziri mukaaga; mujjenga mu ezo muwonyezebwe; naye temujjanga ku Sabbaato.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti, “ Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro bwe yanyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.