Luke 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amwanukula, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu mu mmwe tayimbula nte ye oba ndogoyi ye ku mmanvu yaayo ku Sabbaato n'agitwala okunywa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti, “ Bannanfuusi mmwe, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti Bannanfuusi, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa?