Luke 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale omukazi ono muwala wa Yiburayimu, Sitaani gw'asibidde emyaka ekkumi n'omunaana emiramba, abadde tasaanye kutemwa mu nvuba ezo ku Sabbaato?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibibwa Setaani okumala emyaka kkumi na munaana (18), tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibirwa Setaani, laba, emyaka kkumi na munaana, tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?