Luke 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kwe kugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana ki? Nnaabugeranya ku ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu kyeyava agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Era nnaabugeraageranya na ki?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era nnaabufaananya na ki?