Luke 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bufaanana ng'empeke ya kaladaali omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye; yakula n'efuuka omuti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.