Luke 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bufaanana ng'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.