Luke 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo nnannyinimu bw'alisituka n'aggala oluggi, mmwe mulitandika okuyimirira ebweru n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti: ‘Mukama, tuggulirewo.’ Alibaddamu nti: ‘Simanyi gye muva!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nannyini nnyumba bw'alimala okusituka, n'aggalawo oluggi, muliyimirira ebweru, ne mutandika okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nannyini nnyumba bw'alimala okugolokoka, n'aggalawo oluggi, ne musooka okuyimirira ebweru, n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva;