Luke 13:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga ne tunywera mu maaso go, era wayigirizanga mu mbuga zaffe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mulyoka mutandika okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mulyoka mutanula okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;