Luke 13:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo walibaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo n'abalanzi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, ate nga mmwe mugobeddwa ebweru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo eribaayo okukaaba n'okulumwa obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyo eribaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, nammwe nga musuuliddwa ebweru.