Luke 13:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Nzuuno olwa leero n'enkya ngoba emyoyo emibi ne mponya n'endwadde; olw'essatu ne mmaliriza omulimu gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, n’okuwonya abalwadde, leero, n’enkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Mugende mugambe ekibe ekyo nti Laba, ngoba baddayimooni, mponya abantu leero n'enkya ne ku lunaku olwokusatu ndituukirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mugende mugambe enkerettanyi eyo nti Laba, ngoba dayimooni mponya abantu leero n'enkya, ne ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa.