Luke 13:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yeruzaalemu, Yeruzaalemu, ggwe atta abalanzi n'abakutumirwa n'obakuba amayinja! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekumiriza obwana bwayo wansi w'ebiwaawaatiro byayo, n'otaganya!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'oli! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye ne mutakkiriza!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'ali! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bw'ayo mu biwaawaatiro byayo, so temwakkiriza!